Munnassomabusirikitu (Microbiologist) ye kakensa eyakuguga mu bulamu obusirikitu (microbes oba microorganisms). Obulamu obusirikitu bwe bulamu obusingayo okuba obusirikitu era nga bwe busingayo okuba n’obuzimbe obwangu. Obumu ku bulamu buno nga vayiraasi, bubuusibwabuusibwa oba nga ddala bubalibwa mu biramu nga bwe bisonjolwa